CD

Ekibiina „Äff-tam-tam“ Kirimu abayiimbi saako abakubi b’ebivuga nga bwebamenyeddwa wammanga: Armin Weinfurter (Endingidi enzungu esooka), Andreas Peschl (Endingidi enzungu eyokubiri), Alexander Lochstrampfer (Omulere), Johannes Lorenz (tulombooni), Andreas Weiß (Akodiyoni), Roland Pongratz (Harupu) ate ne Thomas Hille (Endingidi eya beesi omungereza jayita contrabass). Okuva mu mwaka 2008, Abavubuka omusaanvu bano ngabwebamenyeddwa waggulu, bawa ebivvulu ebyenjawulo. Bakuba okusingira ddala enyimba ez’obuwangwa bwabwe mungeri eyekikugu ennyo gyotosuubira etuukira ddala kuntobo y’omutima. Tewetaaga mizindaro singa oba ebetaaga. Eddoboozi eriva mu byuma bino lyemarilira. Music Waffe alimu ebika ebyenjawulo okusinzira ku mbeera y’abantu ate n’ensozi eziri mukituundu kino „Bayern“. Okutu kwekujja okusalirawo.

(Übersetzung: Joseph Wasswa)